Tomanyi gwe bulijjo bye mpitamu
Buli lwe ndowooza gwe mpubamu
Tonyumya ebyo byonna by’obaddeko
Kolabiseeko bboyi ssikuta
Kati siibula byonna by’obaddeko
Yaniriza omukwano omupya gwe nina
Sangula amannya g’oswiitiza
Eryange limu lyokka ly’oba oyita
Nze nalina omukwano ogugwo era mu bujjuvu
Ne ŋuma ne nkulinda ogutikkule
Saapapa bwe nalaba abakwefasa
Ne ŋuma ne nkulinda ogutikkule
Yiiyiza w’ondabira gwe nigga
Obadde obulidde wa okuninda?
Bulijjo obulidde wa nga nkulinda?
Ebipenzi ne bintuga nga nfa
Embooko zambabula nzenna, babe
Sometimes I wonder ki nkufiirako?
Nga n’abantabbira muli kimu!
Ne ba kabaka b’amawanga babakusimbako
Ŋenda naawe omutuufu sidda mabega
Lwaki mubeerako nga muketta?
Tugende tutandike ekikuleese
Ba neighbor batandike okugeya ate
Leka nsuleko bambi mu kifuba kyo
Bulijjo obulidde wa nga nkulinda?
Ebipenzi ne bintuga nga nfa
Embooko zambabula nzenna, babe
Nze ne mbipinga nga tonkolinga
Nkulinze n’omukwano gwo ngulina
Mu lubuto ne ba kid bo mbalina
Akayimba nkuyimbidde baby gira
Omukwano mungi guli eno kima
Ekindeetera okugoba abasigadde
Bazunga bakyetala tebatudde
Oli wa ddala osaanira ettendo
Abanvuganya bambi munveeko
Bulijjo obulidde wa nga nkulinda?
Ebipenzi ne bintuga nga nfa
Embooko zambabula nzenna, babe
LYRICS PUBLISHED BY: PROMOTER MUSA